Luke 24:5-8

5Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, “Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana? 6 aTaliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti, 7 b‘Omwana w’Omuntu, ateekwa okuweebwayo mu mikono gy’abantu ababi, bamukomerere ku musaalaba, naye nga ku lunaku olwokusatu alizuukira.’ ” 8 cNe bajjukira ebigambo bye ebyo.

Copyright information for LugEEEE